Skip to content Skip to footer

NRM egabye ssente- Abamu bagamba ntono, bannakyeewa banyeenya mitwe

Keetalo kenyini ku kitebe ky’ekibiina kya NRM e Kyaddondo nga ba memba abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo baweebwa ensimbi z’okuddukanya kampeyini zaabwe.

Abesimbyewo okukiikirira abakyala ku disitulikiti bafuna obukadde 25 sso nga abesimbyewo ku bukiise ba palamenti abalala bagabana obukadde 20 buli omu.

Ba ssentebe ba zidisitulikiti bbo baweebwa obukadde 15 buli omu.

Omu ku bagabanye ku nsimbi zino Isaac Musumba agamba ssenteb zakubayamba okunonya akalulu mu naddala nga kati obudde buweddeyo.

File Photo: Bana kibiina kya Nrm nga bafuuna sente
File Photo: Bana kibiina kya Nrm nga bafuuna sente

 

Wabula abamu ku bannakibiina betwogeddeko nabo bagamba ensimbi zino ntono.

Aisha Kabanda agamba ntono okukubisaako ebipande n’okukunga abalonzi.

Bbyo ebibiina by’obwanakyewa ebilafubanira obwerufu mu ggwanga byaagala wabeewo okunonyereza wa ebibiina by’obufuzi gyebijja ensimbi byeziyiwayiwa mu kampeyini.

Okusinziira ku ba Transparency International , obuwumbi 140 bwebwakasasanyizibwa abesimbyewo bonna.

Akulira ekibiina kino Peter Wandera agamba ku zino ab’ekibiina kya NRM bakasasanyako ebitundu 87% sso nga abesimbyewo ku lwabwe 7%,

Agamba omusimbi guno guggya abalonzi ku mulamwa.

Leave a comment

0.0/5