
Bannamateeka ba munnamaggye gen David Sejusa bawaddeyo okusaba okutongole eri kkooti y’amaggye nga bagaala omuntu waabwe agire ng’ayimbulwa.
Munnamateeka we David Mushabe ategeezezza nti atwala kkooti eno omukulu Levi Karuhanga mu butongole efunye okusaba kwaabwe.
Sejusa ku lw’okubiri yasindikibwa e Luzira ng’ogumuvunaanibwa gwakweyisa mu ngeri evvoola eneeyisa ya bannamaggye.
Sejusa agamba nti ku myaka 61 akuliridde ng’alina n’ebiwundu gyebafunira mu lutalo nga yetaaga obujjanjabi obw’enjawulo.
Mushabe agamba nti Sejusa ye mukulu mu famire ng’alina b’alabirira.
Wakuddizibwa mu kkooti nga mwenda wiiki ejja kkooti eddemu okusaba kwe.