
Abaguza poliisi emmere balinnye mu Kyoto nga baweze obutaddamu kubawa mmere okutuuka nga basasuddwa
Muno mulimu ababawa akawunga, ebijanjaalo, sukaali, enyama n’amanda nga bagamba nti ensimbi zebabanja mpitirivu.
Abamu ku bano babanja obuwumbi busatu nga bagamba nti minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga yakola okubasasula omwaka oguwedde
SSentebe w’abantu bano Badru Kisitu agamba nti tebagenda kuwa poliisi mmere mu kadde kano okutuuka nga basasuddwa
Wabula yye amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye bano abasabye okubeera abakkakkamu nga bwebakola ku nsonga yaabwe