Skip to content Skip to footer

Laddu esse

File Photo: Laddu esse abantu
File Photo: Laddu esse abantu

Ekikangabwa kibutikidde abatuuze ku kyalo Kisolo-Naluwondwa mu gomboloola ye Madudu e Mubende Laddu bwekubye ab’oluganda 3 babiri ne bafirawo.

Abagenzi mu kiseera kino tebanaba kutegerekeka manya gabwe wabula nga batabani ba Kiberu Eria nga bano Laddu okubakuba ebasanze wabweru mu nkuba ebadde etonya nga ntonotono ate nga munabwe ye adusidwa mu kalwaliro akali okumpi mu kitundu kino okusobola okufuna obujanjabi wabula nga naye ali mumbeera mbi.

Abatuuze mu kitundu kino abogedeko naffe balaze obweralikirivu olwa Laddu esusse okutta abantu mu district ye Mubende nga bagala gavumenti ebeeko engeri gyebayambamu ku kufuna obuuma obukwata Laddu ku nkola eyakibanja mpola.

Kinajukirwa nti gyebuvudeko Laddu yakuba abaana ku somero lya Kabyuma p/s eMubende ne tta abaana 4 nabalala 20 nebafuna ebisago ebyamanyi nga embeera eno ezze evirako nabaana okuwanduka masomero.

Leave a comment

0.0/5