Skip to content Skip to footer

Uganda yakufiirwa buwumbi

Uganda eyolekedde okufiirwa akawumbi kamu n’obukadde nga 400 lwankyukakyuka ya budde mu myaka 20 egiggya.

File Photo: Abantu nga bayita mu mazzi
File Photo: Abantu nga bayita mu mazzi

Akulira eby’obutonde bwensi n’entobazi mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde bwensi Paul Mafabi agamba eby’obulimi byebigenda okusinga okukosebwa kale nga gavumenti esaanye okusomesa abalimu ku nsonga eno bagisalire amagezi nga bukyali.

 

Mafabi agamba singa tewabaawo kikolebwa ebirime nga omuceere ebyetaaga amazzi amangi byakukosebwa mu myaka 20 egiggya.

 

Bino Mafabi abyogedde atongoza alipoota ku nkyukakyuka y’obudde eyafulumiziddwa ekitongole ekikola okunonyereza ku ttendekero ekkulu e Makerere.

 

Agamba gavumenti esaanye okutumbula okufukirira ebirimu mu balimi baleme kulinda nkuba kubanga oluusi elwawo olwo nebakosebwa.

 

Leave a comment

0.0/5