Skip to content Skip to footer

Ekiwamba bantu kyenyamizza minisita.

Bya Damali Mukhaye.

Minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga  gwanga Rtd. Gen Jeje Odongo anakuwalide enkola ey’ekiwamba bantu ekisusse mu gwanga, kyoka nga ekisinga okuluma kwekuba nti abakyala bebasinze okukosebwa.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kya ministry mu Kampala, Odongo agambye nti emisango 72 egy’abakazi abawambiddwa gyegituuse ku poliisi mu banga ery’emyezi esatu egiyise, wabula nga 36 kwejo kubadde kwewamba, 17 bebatiddwa, 13 banunuddwa ate 8 nokutuusa kati tebanamanyikako mayitire.

Wabula agamba nti tebatudde bakola ekisoboka okutereza embera

 

Leave a comment

0.0/5