Skip to content Skip to footer

Ekyuma Ekikalirira Kokolo Kituuka Mwezi guno e Mombasa

MULAGO

Bya Shahim Nateebwa

Ekyuma ekijanjaba kokolo kisubirwa okutuuka ku mwalo e Mombasa sabiiti ejja ngennaku zomwezi 28th omwezi guno.

Kino kyadirira ekyuma Uganda kyokka kyeyalina okufa, ekyogezza abantu ebigambo nabalwadde ba kokolo okubutabutana okumala ebbanga.

Okusinziira ku akulira eddwaliro lya Uganda Cancer Institute e Mulago, Doctor Jackson Orem, ekyuma kino kyakujja mu bitundutundu.

Ekitundu ekimu kigenda kutekebwa ku nonyi nga 26th omwezi guno kituuke e Mombasa nga 28, omwezi gwegumu.

Orem ategezezza nti batandise okutekawo obukuumi ku kayumba akazimbiddwa wekinatuula.

Ekyuma kino kyawemense akawumbi ka Uganda 1 nobukadde 800/-

Ekyuma kino ekikalirira ekirwade kya kokolo kyaguliddwa gavumenti ya Uganda okuva mu kitongole kya international atomic Energy Agency.

Embeera yayononeka mu Uganda mu balwadde ba kokolo e Mulago, ekyuma ekyali kiwanagadde nekiyitanako bwekyafa mu mwezi gwokusattu omwaka oguwedde abalwadde 2000 nebasigala nga bemagazza, gebakaaba gebakomba.

Kati eddwaliro lya Agha Khan University lyaddkirira bweryatwalako abalwadde 400 mu kibuga Nairobi okujanjabibwa.

Leave a comment

0.0/5