MULAGO
Bya Shamim Nateebwa
Ekitongole ekiwooza bwekikyalemedde ekyuma ekigenda okukalirira kookolo, nga kino kibaddde kirina okukwasibwa ministry ye’by’obulamu amakya ga leero.
Dr Jackson Orem akulira eddwaliro erya Uganda Cancer Insititue agambye nti ensobi yakolebwa bali abaakola ekyuma kino bwebabusa amaaso eky’okukola ku zimu ku mpapula ez’omugaso, wabulanga kino batandise okukyekolerako nga ministry.
Kinajukirwa nti kino ekyuma kyagulibwa kubuwumbi 2.700 eza uganda, eranga wano government yayambibwalo abagabirizi bobuyambi
Tutegeezedda nti wezinakonera esaawa nga 12 akakwungeezi nga kimaze okuweebwa ministry ye’byobulamu.
Twogedeko n’abamu ku balwadde ba kookolo betusanze e Mulago nebatubuulira nti bagala government ekole ku nsonga zonna ezikyakwasizza ekyuma basobole okufuna obujanjabi obugwana.