Bya Damali Mukhaye.
E Makerere abakulembeze b’abayizi bawakanyizza eby’alabikidde mu alipoota y’akakiiko akaanonyereza ku mivuyo gye Makerere, nga eno yalagidde nti abayizi abatakola masomo ga sayansi batwalibwe mu matendekero amalala.
Eno alipoota yalaze nti abaana abasoma amasomo nga ebyobusuzi batwalibwe wano ku MUBS e Nakawa, abasoma obusomesa bagende e Kyambogo ate abalala batwalibwe e Nsamizi.
Twogedeko ne Guild president w’abaana bano Paul Kato n’agamba nti eno gyebagamba okutwala abaana bano nayi tewali bifo bimala n’ebikozesebwa, kale nga eky’etaga okukolebwa kwekulongoosa Makerere, sosi kugobaganya baana bano