Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze bomu Kirangira mu ggombolola ye Nama e Mukono, batanudde okwegugunga nga bawakanya ekiragiro kya kooti okubagobaganya ku ttaka nemu mayumba gaabwe.
Abatuuze bazibye enguudo, nebazitekamu emisanvu okubadde nokuzikumamu omuliro, nga batangira ba wanyondo ba kooti abatumiddwa okubasindikiriza.
Etaka lino liliko abantu 1000 nga liwerako yiika 365.
Balumiriza nannyini ttaka Dick Banooba obutakwata ‘Busuulu’ nekigendererwa okubagoba.
Kakati omubaka wa gavumenti e Mukono Nasser Munulo
atuseeko mu kitundu nasaba abantu okubeera abakakamu, era nalaga nokulu bwokugonjoola ensonga okuyita mu kuteesa.