Skip to content Skip to footer

Embalirira eyisiddwa, omusolo ku mafuta gugyiddwaawo

Kerosene

Ab’oludda oluvuganya gavumenti baanirizza ekya gavumenti okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala.

Akakiiko ka palamenti akakola ku by’ensimbi olunaku lw’eggulo kayanjudde alipoota  nga kalaga ng’omusolo ogw’enusu 200 ku mafuta gano bwegwagiddwaawo sso nga ogw’ebitundu 18% ku mazzi ga taapu gwo gwasigaddewo.

Minister w’ebyenfuna mu gavument ewabula , Geoffrey Ekanya agamba kino kibadde kyetaagisa naddala mu biseera bino nga bannayuganda bangi bali bubi mu by’ensimbi.

Ekanya  wabula agamba ab’oludda oluvuganya gavumenti bakwongera okulwana okulaba nga n’omusolo ku mazzi ga taapu gugyibwaawo .

Embalirira ey’awamu eyisiddwa olunaku lwaleero

Leave a comment

0.0/5