Skip to content Skip to footer

Emyaka giweze 55 okuva Obote lweyalumba olubiri

Bya Ivan Ssenabulya

Olwaleero lwegiweze emyaka 55, okuva amagye ga gavumenti yo’mugenzi Milton Obote lwegalumba Olubiri lwa Ssekabaka Fredrick Walugembe Muteesa II e Mengo.

Obulumbaanyi buno bwaliwo nga 24 mu May wa 1966, oluvanyuma lwobutakaanya obwali bubaluseewo wakati wa gavumenti eya wakati n’obwakabaka bwa Buganda.

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategezezza nga bwewategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku Lutikko e Lubaga, ku ssaawa 7 ez’emisana olw’okujjukira olunaku olwo.

Kattikiro agambye nti olw’ekirwadde kyassenyiga omukambwe COVID-19, abantu batono abayitiddwa okwetaba mu kusaba kuno abasigadde baakusinziira gyebali, okugoberera okusaba kuno ku TV.

Leave a comment

0.0/5