Skip to content Skip to footer

Enguuli emusse

local brew

Omusajja eyeetabye mu mpaka z’okunywa Waragi kati z’embuyaga ezikaza engoye

Emmanuel Sserwadda wa myaka 50 ng’abadde mutuuze ku kyaalo Kyakanyomozi ekisangibwa mu disitulikiti ye Lwengo.

Omusajja ono empaka zino yazeetabyeemu olunaku lwajjo era nga kigambibwa okuba nga yenyedde liita za Waragi kkumi nga talidde

Baliranwa bakedde kugwa ku mulambo gwe nga mufu wajjo era nga kiteberezebwa nti omwenge guno gwegwamusse.

Akulira poliisi ye Lwengo Paul Wataka avumiridde ebikolwa by’abantu okukeera ku nguuli mu kifo ky’okukola n’asaba abantu okunyikiira okukola

Leave a comment

0.0/5