Skip to content Skip to footer

Enkuba ejja- ab’entebereeza y’obudde boogedde

land slides

Ettaka lyakuddamu okubumbulukuka ku nsozi za Elgon ate abe Kasese nabo bakulumbibwa amataba

Bino bivudde mu kitongole kya gavumenti ekikola ku ntebereza y’obudde ng’eno etunuulidde ku bbanga ly’okuva kati okutuuka mu gw’okutaano.

Okusinziira ku kitongole kino, ebitundu ebiriraanye enyanja Nalubaale byakufuna enkuba eyabulijjo era nga bwekijja okuba n’eri abo abava mu buvanjuba ne bukiikakkono.

Wabula ekitongole kyekimu kiraga nti mu bitundu bye Karamoja enkuba ejja kufuuka lufumo nebasaba abaayo okutereka amazzi.

Minisita akola ku by’obutonde bw’ensi Flavia Munaaba agamba nti abantu basaanye okwetegekera enkuba nga bagogola emyaala n’okuva ku nsozi kyokka nga n’abalimi basabiddwa okweteekateeka nga basiga mu kadde kano.

Leave a comment

0.0/5