Bya Samuel Ssebuliba.
Ebitongole by’obwanakyeewa ebirwanirira edembe ly’obuntu bitandise okusiima enkyukakyuka ezikolebwa mu police ye gwanga.
Bino bigidde mukadde nga abakulu mu police bangi bazze bakyusibwa, nga kwogesse n’okuggala police ye Nalufenya ebadde etwalibwa nga akattiro.
Twogedeko n’akola ku by’amawulire mu kibiina ekya Human rights network Patrick Tumwine , naagamba nti enkyukakyuka zino ziggwana zitandike okulabika nga zikola, olwo police ye gwanga etandika okutwalibwa nga azze ku mulamwa.
Kati ono agamba nti akegri kekiri nti omukulu wa Police omupya Martin Okoth Ochola aludde mu police, ayinza okuba nga kyakola akitegeeza, era nga police ye gwanga yandiddamu okukola ekigisubirwamu.