
Poliisi etandise ebikwekweto okukwata abasuubuzi abakyagula ebisolo okuva mu disitulikiti ezaatekebwako envumbo olw’obulwade bwa kalusu.
Bino webigyidde nga sabiiti eno poliisi e Nakaseke yakakwata biroole bibiri nga bikubyeeko ente okuva e Nakaseke.
Ayogerera poliisi yeeno, Lameck Kigozi atubuulidde nti bakwatagenye n’abasawo b’ebisolo, kko n’abakulembeze abalala okuteega abakyesibye ku kyokutambuza ebisolo.
Kinajjukirawa nti ezimu ku disitulikiti mu kitundu kino omuli Luweero, Nakaseke, ne Nakasongola zaatekebwako envumbo olw’obulwadde bwa kalusu obwalumba ekitundu era nga mu kaseera kano mpaawo akkirizibwa kugula oba okutambuza kisolo okuva mu disitulikiti zino.