Skip to content Skip to footer

Etteeka ku bisiyaga teryetaagisa

HURINET KFM

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basimbye nakakongo nti etteeka ly’ebisiyaga teryetagisa.

Kino kiddiridde ababaka okutandika okukungaanya emikono okuddamu okuyisa etteeka eddala oluvanyuma lw’eryasooka  kkooti etaputa ssemateeka okuligoba nti ababaka baali tebawera okuliyisa.

Abalwanirizi b’eddembe bano bagamba singa etteeka lino liddamu okuyisibwa mu mbeera gyerilimu,lyakusattirira eddembe ly’obuntu.

Omukwanaganya w’ekibiina kya  Human rights network, Mohammed Ndifuna agamba tebeetaaga tteekalino.

Etteeka lino liragira omuntu okusibwa mayisa singa mwetobekamu okukabasanya abaana abatanetuuka.

Leave a comment

0.0/5