Skip to content Skip to footer

Eyabbye amatooke akubiddwa emboko.

Bya  Malik Fahad.

E  Sembabule waliwo omusajja asimatuse okutibwa abatuuze nga ono alangibwa kubba matooke g’abatuuze ku kyalo.

Eno enjega ebadde ku kyalo Kawanda nga eno abatuuze bagwikirizza omusajja  ono  George William Zziwa  ow’emyaka 40 nga akuluggusa amatooka g’abatuuze.

Abatuuze bagamba nti ono yalumbye olusuku lwa Ezekeil Mulwanyi  n’atandika okutema amatooke baagenze okumukwata nga yakatema enkota taano.

Ayogerera Police yeeno Lameck Kigozi  kakasiza okukwatibwa kwono.

Leave a comment

0.0/5