Skip to content Skip to footer

Eyakubwa amasasi e Bukwo afudde

Bya Ivan Ssenabulya

Omukazi eyakubibwa amasasi abasirikale ba poliisi mu district ye Bukwo afudde.

Joan Cherop yakubwa amasasi mu kavuvubgano, abasirikale okuli Martin Alkin ne Julius Cherimo bwebaali bakwata Ben Chemusto agambibwa okubba essimu.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Rogers Taitika atubuliidde nti omukyala ono amaze nassa ogwenkomerero mu ddwaliro ekkulu e Mbale gyabadde afunira obujanjabi.

Abasirikale 2 bakyakumibwa ku CPS e Kapchorwa atenga omuyiggo gugendsa mu maaso ku agambibwa okubeera omubbi eyadduka.

Leave a comment

0.0/5