Omukulembeze w’eggwanga lya Equatorial Guinea Obiang Nguema asuubirwa mu ggwanga olwaleero okwogerageranyamu ne munne owakuno Yoweri Museveni.
Abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’amawanga gebweru batutegezezza nti abakulembeze ababiri bakwogera ku nsonga z’amafuta n’amagye.
Ku bugenyi bwe obw’ennaku 2 pulezidenti Obiang era wakwogerako eri olukungaana lwabakugu ku nsonga z’amafuta oluli wali ku Hoterl Serena ku lwokuna.
Ababiri bano era bakuteesa ku nsonga z’ebyenfuna n’okunonyeerza ku nsonga za sayansi.