Skip to content Skip to footer

Minisita Kabfunzaki byongedde okumwononekera

Bya Sam Ssebuliba

Nga kyajje akwatibwe ku musango gw’okujja enguzi ey’obukadde 5 ku Munammad  Muhammed Hamid owa kampuni ya AYA , minisita omubeezi ow’abakozi byongedde okumwononekera.

Ekitebe ky’eggwanga lya South Korea kuno  kiwandikidde omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru  w’eggwanga banonyeerze ku neyisa ya minisita Herbert Kabafunzaki.

Bano balumiriza minisita okukwata munansi waabwe WOO Junghoon   olw’okugaana okumuwa enguzi ya doola 5000 namusindika mu kaduukulu ka CPS okumala essaawa 5.

Kigambibwa okuba nti minisita Kabafunzaki y’alagira abaserikale ba poliisi obutayimbula mukorea ono  okutuusa nga asasudde enguzi eno nga era ab’ekitebe kya Korea basooka kubiyingiramu omuntu waabwe okuyimbulwa.

Leave a comment

0.0/5