Bya Ruth Anderah
Agambibwa okusangibwa ng’awoganira mu bantu avunaniddwa nawebwa ekibonerezo kyakusibwa mwezi mulamba.
Semakula Arafat avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Beatrice Kainza nakiriza omusango gw’okweyisa mungeri etagasa.
Wabula oluvanyuma lw’okukiriza omusango omulamuzi amuwadde ekibonerezo kyakwebaka mu kkomera e Luzira okumala omwezi mulamba.
Kigambibwa nti Semakula ow’emyaka 26 nga October 19th 2017 yeyisa mungeri etagasa ng’awogana n’okukanyugira abakozi ba KCCA amayinja.