Bya Magembe Sabiiti
Police e Mityana eriko abantu 3 bekute nga bateberezebwa okwenyigira mu ttemu lyokutta Katerega Emmanuel owemyaka 30 ng’ono abadde mutuuze ku kyalo Ndagi mu gombolola ye Bulera e Mityana.
Omulambo gwa Katerega gusangiddwa nga gusulidwa ku mabbali ge kubo okumpi ne kirabo ky’omwenge.
Omwogezi wa police mu Wamala Nobert Ochom ategezezza nga bwebakute abantu 3 okuli Nalongo Kimbugwe bayambeko police mu kunonyereza ku ttemu lino.
Omulambo police egutute mu ddwaliro e Mityana okwekebejebwa.
Mungeri yeemu poliisi e Mityana ekute omuvubuka Kiseka Ronald owemyaka 20 lwakuwamba Namukadde owemyaka 76 namusobyako.
Bino bibadde ku kyalo Senda-kakindu mu gombolola ye Bulera e Mityana omuvubuka ono bwayingiridde namukadde Namale Beatrice namukaka akaboozi namuleka ngamuyuzizza bitundu bye kyama.
Omwogezi wa police Nobert Ochom akakasizza okwatibwa kwomuvubuka ono.