Bya Ruth Anderah, Omusajja atemera mu gy’obukulu 35 agasimbaganye n’omulamuzi ku bigambibwa nti yatunuza omwana wa muliranwa we ow’emyaka 7 mu mbuga za sitaani.
Minani Michael asomeddwa omusango ogw’okujula ebitanajja, mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Wilson Kwesiga wabula nagwegaana.
Kigambibwa nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 9 June 2017 e Katwe mu Division ye Makindye, maama w”omwana bweyali yewunguddemu Katono.
Oluvanyuma omulamuzi Kwesiga ataddewo olunaku lwa September 9, lwagenda okutandika okuwozesebwa.