
Eyatomerwa baasi ya Pioneer ayagala alabirirwe kkampuni ya baasi zino okutuusa mukama lw’ali mujjulira.
Tommy Bagenda ow’emyaka 34 agamba nti ku nga 21st November 2011 nga ali ku kagaali ke e Najeera , baasi eyali edduka obuweewo yamutomera okukkakkana ng’emumenye amagulu n’omugongo.
Agamba nti baasi eno yali evugibwa omusajja amanyiddwa nga Francis Irumba.
Agamba nti takyasobola kufuna mulimu gwonna kubanga atambulira mu kagaali nga tasobola kwekolerera.
Kati Omuwandisi wa kkooti enkulu Alex Ajiji amaze okuyita kkampuni ya Pioneer okwewozaako mu nnaku 15 zokka.