Bya ISAAC OTWII
Kooti enkulu wano e Lira eriko omusajja ow’emyaka 38 gwekutte nga ono emulanze gwakutta banaabe babiri
Omusajja ono Babu Opio nga mutuuze we Abalang wano mu Dokolo yasindikiddwa mu komera e lira okutuusa nga June 20 oluvanyuma lw’okutegeeza omulamuzi Alex Ajiji nti kituufu omusango yaguzze
Omusajja ono Opio ayimiridde bwa ntoogo nagamba nti kituufu mu May nga 28, 2014 yatta abaana 2 beyazaala mu mukyalawe Dilish Abele nga kubano kwaliko Yusuf Okello ne and Fazila Acen.
Omusajja ono nga amaze okutta abaana bano yekenyini yeetwala ku police neyeewo