Skip to content Skip to footer

Eyavvoola pulezidenti atanziddwa

Museveni's convoy

Omusajja eyagaana okuviira oluseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga atanziddwa emitwaalo 50.

Simon Musimenta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda road Sanyu Mukasa era n’akkiriza emisango.

Abadde avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’obutaviira motoka za pulezidenti n’okuvuga mu ngeri enkyaamu.

Oludda oluwaabi lugamba nti ono ng’ali ku ssaawa ya kwiini yawulira engombe z’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga n’alemera mu kkubo ekintu ekimenya amateeka.

Leave a comment

0.0/5