Skip to content Skip to footer

Eyawemmula aba KCCA avunanibwa

Bya Ruth Anderah, Omutembeeyi ow’emyaka 25 asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala naavunanibwa omusango ogw’okuwemmula abakozi ba KCCA nga bali ku mirimu gyabwe.

Baninga Mike asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise amusomedde emisango wabula emisango gy’okweyisa mungeri etegasa ng’awemmula abantu nagyegaana.

Wabula omulamuzi amuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka mitwalo gy’ensimbi za Uganda ena ezitali za buliwo.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusajja oyo emisango yagizza nga August 6th 2019 e Mengo Rubaga Division wano mu Kampala.

 

Leave a comment

0.0/5