Skip to content Skip to footer

Famile ya Bisaka daaki ekakasizza okufa kwe

Frank Muhereza

Famile ya Owobusobozi Bisaka abadde akulira enzikiriza ya Faith of Unity daaki bakaksizza okufa kwe.

Okufa kwa Bisaka kubadde kwawulirwa dda wonna, wabulanga abantu be babadde bakyelemye okukakasa amwulire gano.

Kati akulira ebymwulire mu diini eno Omukwenda Turyamureba akakasizza akawungeezi akayise, wabula awatabadde kulaga ebisingangawo ebikwata ku kufa kwe.

Turyamureba agambye nti omulambo gwa Bisaka gugenda kuletebwa ku kitebbekye diini eno ku kyalo mu tawuni kanso ya Muhorro mu disitulikiti ye Kagadi okuva e Kampala, olwaleero.

Wabula asabye abakiriza ne gwanga lyonna okusigala nga bakakamu, ngera talambuludde entekateeka na wa wagenda okuzikibwa.

Okufa kwa Biska kwategerekeka wiiki ewedde, nga kigambibwa okusinziira ku mawulire agayitingana nti yafa kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Leave a comment

0.0/5