Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti ya NRM etegezezza nti ddala yewaddeyo okulwanyisa obwavu mu bantu.
Bino webijidde ngebibalo biraga nti bann-Uganda bagenze baddyo mu bwavu mu kabanga akayise.
Ebibalo okuva mu kitongole kya Uganda Bureau of statistics biraga nti obwavu mu gewanga bweyongedde okuva ku 19.7 % nga bwegwali mu mwaka gwebyensimbi 2012/13 kankano okudda ku 21.4% mu 2016/2017, atenga ekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID -19 kyayongedde nokukuba ebyenfuna, era ebibalo byandiba nga bisukawo.
Wabula minisita wensonga zobwa pulezidenti Esther Mbayo anyonyodde nti bagenda kukirwanyisa okuyita mu ntekateeka ezenjawulo.