Skip to content Skip to footer

Famire ya bantu mukaaga enywedde obutwa- bataawa

poison in mubende

Abaana bataano ne maama waabwe bawereddwa obutwa.

Bino bibadde Bukuya mu disitulikiti ye Mubende.

Omukaaga bano kati baddusiddwa mu ddwaliro lya Bukuya health center four nga bali mu mbeera mbi ddala.

Abawereddwa obutwa kuliko maama Ruth Tumwebaze n’abaana baabwe okuli Hujambo Kwagala 10, Witness Mirembe 9, Holiness Kukkiriza, Promise Wakisa 5, ne Vanesi Namale ow’emyaka ebiri.

Okusinziira ku taata w’abaana bano Edward Mutyaba waliwo omugenyi eyakyadde mu maka gaabwe olunaku lwajjo ne soda  era ng’ono kiteberezebwa nti yeeyabaddemu obutwa

Kati poliisi e Mubende etandise omuyiggo gw’omusajja ono gwebatannaba kwatuukiriza mannya

Leave a comment

0.0/5