Bya Ali Mivule
Abanene Express ne KCCA FC olwaleero bakuggwangana eggayangano mu luzanya olusooka olwa semi finals z’empaka za Uganda Cup.
Express eyagala kwesasuliza ku KCCA olwokujikuba enfunda 2 mu liigi y’eggwanga nga ogwasooka babakuba 3-1 ogwaddako nebabakuba 1-0 e Wankulukuku.
Omutendesi wa KCCA Mike Mutebi mukakafu nti oluvanyuma lw’okuwangula kiraabu ya Tunisia eya Club Africain, baafunye embavu okwanganga buli abasala mu maaso kale nga basuubira buwanguzi ku gwa Express.
Wabula n’owa FC Matia Lule awera nti yadde nga omupiira guno gulabise okubeera omuzibu nabo baagala bubonero.