Skip to content Skip to footer

Gavumenti egamba Bobi wine avugirirwa bazungu.

Bya Getrude Mutyaba.

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa President Esther Mbayo akaayuukidde abavubuka baalumirizza obutassa kitiibwa mu gavumenti ya Pulezidenti  Museveni so nga ekoze kinene okubateerawo embeera ebasobozesa okwekulakulanya.

Mbayo asinzikidde mu lusirika lwa ba RDC okuva mu bitundu bya Buganda Olubadde ku Hotel Brovad mu kibuga Masaka naagamba nti abavubuka nga Hon. Robert Kyagulanyi  basaanye okukozesa omukisa gwebalina okwejja mubwavu, soso kudda mubyakwesiba ku byabufuzi ebitayamba gwanga.

Minister Mbayo ategeezezza nga bwewaliwo akakundi k’ebibiina by’obwannakyewa ebyefunyiridde okumaamulako gavumenti  nga biyita mu kuvujjirira abalabe ba gavumenti omudidi gw’ensimbi.

kati ono agambye nti bakizudde nga Bobi Wine ono tali yekka, era nga bagenda mu maaso nokunonyereza ku bibiina bino.

Leave a comment

0.0/5