Bya samuel Ssebuliba.
Minister akola ku nsonga z’obutebenkevu Gen Elli Tumweine alabudde banna-uganda okubeera ebegendereza nga balabye omuserikale oba omujaaso alina emundu.
Minisita agambye nti amateeka okuli elya Police act ne UPDF act gawa police n’amajje obuyinza mu mbeera enzibu okukozesa amasasi genyini kubantu abeekalakaasa, kale nga kino abantu bagwana okukimanya.
Ono agambye nti abantu abamu bagenda nebasoomoza amajje ne police ekiyitiridde, kyagamba nti kino kyekitera okubaviirako okuva mu mbeera nebakozesa amasasi.
Wabula minisita agumizza egwanga nti mpaawo agenda kutabangula mirembe aniigiine,kale nga yennna anaakwatibwa kaabe wabitiibwa wakusibira mu komera.
Ono agambye nti government n’amajje betegefu okulaba nga emirembe giba mu Uganda.