Bya Benjamin Jumbe
Minister wa Kampala Betty Kamya ategeezezza nga gavumenti bwekitegedeko nti waliwo abantu abaagala okutabangula okulonda kwenkya.
Bino abitegezza banamawulire nagamba nti waliwo basekinoomu abalina entekateeka ezokulemesa okulonda kuno, wabulanga gavumenti tegenda kukiganya.
Ono mungeri yeemu ategeezezza nga bwewaliwo abakola ku byokulonda abaagala okukozesa okulonda kuno okusaba ssente mungeri yokukutula deal, wabula agambye nti tekigenda kusoboka.