Skip to content Skip to footer

Gavumenti ejulidde ku bisiyaga

constitutional court

Gavumenti ejulidde ku nsalawo ya kkooti bweyawera etteeka ku bisiyaga

Kkooti yakasuka etteeka eriwera ebisiyaga ng’egamba nti abaliyisa baali tebawera .

Omuwolereza wa gavumenti  Elisha Bafirawala y’ataddeyo okujulira kuno n’ategeeza nga ssabawolereza wa gavumenti bw’atali mumativu n’ensonga z’etteeka ku bisiyaga .

Abalamuzi abataano okuli Steven Kavuma, Augustine Nshimye, Rubby Aweri Opio, Eldad Mwangusya ne Solomy Balungi Bosa basalawo awatali kweyawulamu nti etteeka ku bisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu.

Bbo nno abawakanya etteeka lino bagamba nti bbo baakola ogwaabwe nga ssabawolereza wa ddembe okukola by’ayagala

Omu ku bano nga yeeyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Prof Morris Ogenga Latigo agamba nti bakulindira mu kkooti naye nga tasuubirawo nkyuukakyuuka

Eky’okusazaamu etteeka lino kyanyiiza bangi okuli n’ababaka abamu abaliwagira nga kati bazzeemu buto okunoonya emikono

Leave a comment

0.0/5