Bya Moses Kyeyune
Obukiiko bwa palamenti obwenjawulo bunenyezza gavumenti olwokulwisa enteekateeka zokwanja embalirira y’eggwanga.
Okusinziira ku tteeka ly’ebyensimbi erizingiramu n’embalirira y’eggwanga erya 2015 likilambika nti embalirira eno yalina okwanjibwa nga 1 April terunatuuka okwongera okujikubaganyako ebirowoozo.
Wabula enteekateeka zonna zitambula mungeri yakasoobo nga era sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga azzenga anenya gavumenti obutaleeta mateeka gegasa okukugabanyako ebirowoozo.
Ababaka okuli akiikirira abakyala e Nakasongola Margaret Komuhangi nowe Bulamogi Kenneth Lubogo .
Wabula ye nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa agamba kituufu wabaddewo okulwawo wabula nga bakola ekisoboka okutereeza buli kimu.
