Bya Samuel ssebuliba.
Gavumenti esabiddwa okufaayo okubudabuda abaana bejja ku nguudo, sosi kubasuula busuuzi eyo mu maka agakuuma abaana abatalina mwasirizi.
Bino bigidde mukadde nga Minisitule ekola ku by’abaana yatedewo olwaleero nga nsalesale okulaba omwana yenna kunguudo, era nga bangi bayoleddwa.
Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku by’abaana Bernard Atiku, naagamba nti okujja obwana buno kunguudo tekimala kubanga beetaga okukyusa endowooza bafuuke bannayuganda abalungi.
Kati ono agamba nti govumenti egwana okuvaayo n’enkola enungamu ey’okubudabudamu abaana bano , sosi kubayoola buyoozi