Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde akaka ku byamutuusiddwaako olunaku lwajjo ng’agamba nti wandibaawo olukwe okumutta.
Besigye yakwatiddwa olunaku lwajjo bweyabadde ayolekera Wankulukuku era mu kavuvugano, emotoka ye yayasidwa naye kenyini okukubwa kamulali
Ng’ayogerako eri bannamawulire e Kasangati, Besigye agambye nti tewali nsonga lwaki abasirikale babadde bamuyingirira ng’ali ku gagwe nebatuuka n’okumukuba kamulali butereevu mu maaso.
Besigye agamba nti kirabika waliwo n’ebirala ebyamukubiddwa kubanga okuva jjo tannaba kutereera kyokka ng’afuna obujjanjabi
Ono alumbye gavumenti gy’agamba nti erina olukwe olubalemesa okukola egyaabwe kyokka ng’aweze nti teri kudda mabega
Bbo nno abavuganya mu palamenti bavumiridde eryaanyi poliisi ly’ekozesa ku bavuganya
Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga mu gavumenti erinze obuyinza Muwanga Kivumbi agamba nti ebikolwa bya poliisi bimenya mateeka
Yye Dereeva wa Besigye Fred Kato yeeyimiriddwa oluvanyuma lwokuggulwaako omusango gw’okuvugisa ekimama.
Kato alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa Buganda road Mary Kaitesi Lukwago amuyimbudde ku kakalu ka mitwalo 40.
Ono yeeyimiriddwa atwala abakyala ba FDC Ingrid Turinawe