Bya Ritah Kemigisa
Ministry yamasanyalaze nebyobugaga ebyomu ttaka etegeezezza nti yakusalawo oba ekitongole kya UMEME kyakusigala nga kyekikola ku byamasanyalaze mu gwanga oba nedda mu mwaka gwa 2021.
Bwabadde ayogerako eri banamawulire olwaleero ku byebakoze mumanifesto ya NRM mu mwaka okuva mu 2016, minister wamasanyalaze Eng. Iren Muloni agambye nti ekyokugoba UMEME ssi nsonga ntono, wabulanga 2021 wanatuukira nga ekyenkomeredde kisalidwawo.
Ono agambye nti mu kaseera kano UMEME ekyalinayo emyaka gyayo 7, okutuusiza ddala mu mwaka 2025, nga wano Uganda werina okusalalwo oba enafuna company endala oba nedde.
Kinajukirwa nti mu mwezi ogwokusatu, omukulemebeze we gwanga yasalawo nti bano balabika emirimo gibalemye, ngayagala contract yabwe bwegwako bwakwetemu ebyanguwa, okumuviira.
Minista era anokoddeyo okufunanga ettaka nga bwekifuuse ekizibu ekyamanyi gyebali.
Irene Muloni agambye nti kino kivuddeko polojekiti nnyingi okulwawo okutandika.
Ategeeza nti ensimbi ezokuliyirirra abantu ku ttaka, zibeera waggulu nnyo, wano nakuba omulanga abanatu okuberamu namazima nga baguza gavumenti ettaka kwerina ate okubakolera enkulakulana.