Bya Samuel Ssebuliba.
Government etereddwa kuninga olw’okulemwa okukuuma ebeeyi y’emere, okukakana nga emere ey’empeka kaakano egwiridde dala ebeeyi.
Mukaseera kano kilo ya kasooli mu bitundu ebimu etambulira wakati wa Shs100-200 ekiviirideko abalimi okulaajana.
Kati twogedeko n’akulira ekibiina ekya Food Rights Alliance Agnes Kirabo naagamba nti mu mwaka 2017 Uganda yalumbwa ebbula ly’emere netutuuka n’okugula omuceere e china , wabula kyanaku nti mpaawo government kyeyiga mukino.
Ono agamba nti mukaseera kano government yandibadde eggula emere eno ebooze, ate mukaseera ek’enjala egijjeyo okujuna eggwana , sosi kuleka balimi kufiirwa nga bweguli kakano.