Skip to content Skip to footer

Okuyigga anadda mu bigere bya Fagil Mande kutandise

Mande, Alupo and Bukenya

Oluvanyuma lwa Fagil Mande okulekulira nga ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga, okunonya omusikawe kwatandise dda.

Mandy yabigyemu enta oluvanyuma lwa presidenti Museveni okwongezaayo endagaano ya ssabawandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya bwebabadde bagugulana.

Kati minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba abakola ku kugaba emirimu mu kitongole kino bakusisinkanamu bateese engeri gyebagenda okulandamu omusikawe.

Alupo era agamba nti okulekulira kwa Mandy tekulina mungeri yonna gyekugenda kutatagana mirimu gyakitongole kino.

Leave a comment

0.0/5