Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi avuddeyo n’awolereza gavumenti ku nkyukakyuka mu mateeka g’ebyokulonda ezaaleteddwa
Ono agumizza abantu nti akakiiko akalondesa kakwetengerera ng’era bwekyeyolese mu nongosereza ezaleeteddwa
Ssinga ebbago lino liyita, akakiiko akalondesa kakukyusibwa erinnya kyokka ng’era okulonda abakaliko kwakukolebwa omukulembeze w’eggwanga
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Ssekandi agambye nti ekikulu beebantu abalondebwa ku kakiiko ssi kirala.
Ono agamba nti yadde pulezidenti y’alonda abatuula ku kakiiko, mulimu gwa palamenti okubasunsula
Bbo nno ababaka okuva ku ludda oluvuganya bagamba nti ebbago ku nongosereza mu mateeka g’okulonda ezaleeteddwa tezisobola kuvaamu kulonda kwa mazima na bwenkanya
Bano abakulembeddwaamu Cecilia Ogwal ne Mathius Mpuuga bagamba nti gavumenti okukyusa erinnya ly’akakiiko akalondesa tekimala
Basabye bannayuganda okuwakanya ebyaleteddwa kubanga byakigumaaza