Skip to content Skip to footer

General Muhoozi yebalamye banamwulire

Bya Ruth Anderah

Wabaddewo katemba ku kitebbe kyakakiiko akanonyererza ku mivuyo gye ttaka e Wandegeya omuddumizi we gye lye gwanga David Muhoozi bweyebalambye banamulire nasigala wansi mu basement.

General Muhoozi abadde alabiseeko mu maaso gakakiiko akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemeire okunyonyola ku bigamabibwa nti waliwo banamagye abokuntikko abetaba mu kubba ettaka lya Kyaaka 1 mu district ye Kyegegwa okutudde ababundabunda.

Nga bwegwali mu January womwaka guno, banamagye bagaanye okwogerere ku camera eri akakiiko mu banamaulire.

Olwaleero Gen Muhoozi aganye okowgera ne banamwulire, nabekweka wansi mu basement emmotoka ye gyemukimye.

Kinajjukirwa nti olunnaku lwe ggulo, omukungu avunanyizibwa ku kutebenkeza abantu mu wofiisi ya ssabaminista Charles Bafaki yategezeza nti abamu ku banamgye, betaba mu vvulugu wokubba ettaka mu ntekateeka eno.

Leave a comment

0.0/5