Bya Magembe.
Abazadde n’abayizi ku somero lya St Charles Katente primary school mu gombolola ye Kiyuni e Mubende baguddemu eky’ekango omwana owe 14 bwakubiddwa ejinja naafirawo.
Omugenzi ategerekese nga ye Gwoliranye Sylvia nga abadde muyizi mu kibiina eky’omukaaga.
Ono okufa kidiridde kampuni ya ba China eya China Communication Construction Uganda Ltd ekola oluguudo lwa Mubende -Kakumiro okwasa amayinja nekuvaako akapapajjo okukakana nga kakubye omwana naafa.
Akulira eby’okwerinda mu company ya china eno Musinguzi Humphrey agamba nti bakoze okulabula eri abantu bonna abetolodde ekitundu kino nga mateeka bwe galagira, kyoka abakulira esomero lino tebaafudeyo.