Skip to content Skip to footer

Besigye asabye bannauganda okwenyigira mu lutalo lwókufuna e mirembe gyabwe

Bya Prossy Kisakye,

Eyavuganya kubwa pulezidenti efunda 4 era nga yaliko senkagale wekibiina kya FDC, rtd col Dr Kizza Besigye, akubiriza bannauganda okwenyigira mu lutalo olwokwenunula okuva mu bukulembeze obubanyigiriza.

Bwabadde ayogerako e bannamawulire ku yaffeesi ye mu Kampala, Besigye, agambye nti bannauganda tebalina kulekera bakulembeze abali ku ludda oluvuganya buvunanyizibwa bwa kwenunula

Akikatiriza nti ne bannauganda balina okwegatta ne bakolera wamu okwesumulula okuva mu busibe bwe balimu

Mungeri yemu Besigye ategezeza nga bwebatandise okwogerezeganya ne banne okulaba butya bwebayinza okukunga bannauganda okwegatta basobole okufuna eddembe lyabwe mu mirembe.

Era atangaziza ku ntekateeka ye gyeyatuuma plan B, nti si yakugenda mu lutalo nga abamu bwebalowooza kuba olutalo yalulimu era telulimu kalungi konna

Mungeri yemu Besigye asabye amawanga amagabi gobuyambi okukomya okuwola Uganda ensimbi kuba gavt ezikozesa bubi.

Ono agamba nti gavt yewoze ensimbi nyingi mu kulwanyisa ekirwadde kya covid-19 wabula ne zikozesa kwenywereza mu buyinza

Leave a comment

0.0/5