Munnamateeka Fred Muwema yeganye eby’okulya mu yesimbawo ku bwapulezidenti Amama Mbabazi olukwe n’alya enguzi ya bukadde 900.
Muwema eby’okulya enguzi byawandikibwa ku mukutu gwa Face Book amanyiddwa nga Tom Voltaire Okwalinga eyategezezza nga Muwema olwamala okuya ezize omusango n’aguvaamu.
Mu bubaka bwebumu Okwalinga agamba yekobaana n’abalala nebamenya ofiisi ye nebabbamu obujulizi Mbabazi bweyali agenda okukozesa mu musango gweyawaaba.
Kati Muwema agamba ensonga eno baagiwaba dda ku poliisi kale nga omuntu okwogera bino kwelogozza kwenyini kubanga tebiliiko matu namagulu.
Agamba tebawolerezza Mbabazi mu kkooti olw’ensonga ezimanyiddwa bbo ne Mbabazi kenyini kale nga byonna ebikookerwa kumusibako matu gambuzi kumuliisa ngo.
