Skip to content Skip to footer

Abadde yekumyeko omuliro lwabbula lya mirimu

CPS

Poliisi ya  CPS eriko omuvubuka ategerekese nga Gerald Kato gwekutte nga agezaako okwekumako omuliro mu maaso g’omulyango gw’amaka g’omukulembeze w’eggwanga e Nakasero.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga omuvubuka ono bw’abadde n’akadomola ka petulooli ka liita 5 n’omufaliso nga agamba wakweyokya singa akwatibwako.

 

Omuvubuka ono agamba ebbula ly’emirimu n’obwavu bususse mu ggwanga kale nga okubeera omwavu wakiri afa.

 

Mukiseera kino akuumibwa ku CPS nga bw’alindirira okugulwako emisango egyenjawulo.

 

Leave a comment

0.0/5