Bya Rita Kemigisa,
Government eremeredwa okuwa embalirira ku bannauganda abaze babuzibwawo abawera 33 ku 44
Bwabadde ayogerako eri ababaka ba palamenti ku kiwamba abantu ekiri mu ggwanga minister owe nsonga ezomunda mu ggwanga Gen Jeje Odongo agambye okunonyereza kutandise ku bantu 31 abagambibwa okuba nti babuzibwawo mu disitulikiti okuli Kyotera ne Wakiso e Kyebando mu municipaali ye Nansana.
Ono agamba nti basobodde okuzuula bannauganda 13 wabula nga si bonna nti baali bawambibwa buwambibwa abamu baali bakwatibwa ku misango egye njawulo
Ku bano kuliko Muyanja Sulaiman, Ssebaduka Ali Bogere, Twaibu Ddumba, ne Babirye Rita era nga bano bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Era waliwo na balala okuli Lumu Ronald, Kabaale Benard, Mugarura Ronald ne Shafik bano bonna tebawambibwa wabula bakwatibwa.