Skip to content Skip to footer

Gwebalumiriza okutta omutuuze basanyizaawo amaka ge

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu distulikiti ye Bukomansimbi etandise okunonyereza kungeri abantu gyebatwalidde amateeka mu ngalo, bwebalumbye
amaka ga mutuuze munaabwe nebagatekera omuliro.

Bino bibadde ku kyalo Mizindalo mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi mu maka ga Abubakar Kaketo, nga basoose kwonoona bintu byonna oluvanyuma nebabitekera omuliro.

Ono babadde bamulumiririza nti alina kyamanyi ku nfa ya munaabwe John Malinzi.

Abatuuze bagamba nti Malinzi yasemba okulabwako ku lunnaku Lwokuna wiiki ewedde ngokuva olwo bababdde bamunoonya, wabula kyabaweddeko bwebazudde omulambo gwe mu nnimiro ya Kaketo.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti basobodde okutaasa ennimiro ya Kaketo, ebbiina lyabatuuze gyebabadde bagala okusanyawo.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5